Amawulire

Bannauganda 87 baggalibwa mu Butuluuki

Bannauganda 87 baggalibwa mu Butuluuki

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ensonga z’ebweru ekakasizza nti omugatte gwa bannayuganda 87 bebasibirwa mu ggwanga lya Turkey olwa viza zaabwe okugwako ne basigalayo.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olunaku olwaleero, Vincent Waiswa Bagire omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule  eno, nga bali wamu n’ekitebe kya Uganda mu Turkey balambudde ebifo 6 mwe basibira abantu abantu bano.

Bagire agamba nti bakwataganye n’ab’obuyinza mu Turkey okunoonya butya bwebasobola okuyamba abantu bano.

Mungeri y’emu minisitule y’ensonga z’ebweru esabye Bannayuganda bulijjo okugoberera amateeka mu mawanga gyebaba bagenze.