Amawulire

Bannamawulire babanja

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Census is here

Bananyini mikutu gy’amawulire batiisizza okukuba gavumenti mu mbuga z’amateeka lwakulemererwa kubasasula ku by’okukunga abantu okujumbira okwewandiisa okufuna endagamuntu okwakaggwa.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta bananyini mikutu gino  Azim Tharawi ategezezza nga bwebazze batuukirira omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga n’abalala abakwatibwako okubasasula nga mpaawo kavaayo.

Ono kati eby’okusimba akaggo agamba babikooye nga baagala basasulwe ensimbi zaabwe akawumbi 1.5 eri emikutu egisoba mu 30.

Agattako nti emikutu egisinga gyabwananyini  nga giriwo kukola nsimbi kale nga ezaabwe bazaagala.

 

Bbo abaminisitule bategezezza nga eby’okusasula bano bwebabikolako.