Amawulire
Bannamawulire abakyala baliko bye basabye gavt ku lunaku lwabwe
Bya prossy Kisakye,
Nga eggwanga lijaguza olunaku lwa bakyala olunaku olwaleero, ekibiina omwegatira bannamawulire abakyala ki, the Uganda Media Women’s Association (UMWA) kisabye gavumenti okuteeka munkola amateeka agalwanyisa okusosola abantu olwekikula kyabwe ku mirimu.
Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokujaguza abakyala abali mu mulimo gwa mawulire ku woffiisi za UMWA mu Kampala, amyuka Ssentebe wekibiina kino, Dr Emilly Maracho, agambye nti wakyaliwo ensongo ntoko ezinyigiriza bannamawulire abakyala ekivirideko abamu okuwalirizibwa okulekulira emirimu gyabwe.
Anokodeyo ekya bakulira emikutu gyámawulire okugaana okubalinyisa amadaala yadde nga baba n’obukugu nóbumanyirivu obwetagisa, obutaweebwa mwaganye kusaka mawulire ku banene omusaala ogwekekwa ogubaweebwa ne bikolwa ebyokubakabasanya ne birala
Maracho wasabidde ebitobgole bya gavumenti ebivunanyizibwa kunsonga eno okuvaayo okunyeza amateeka ku bikolwa ebyokutyoboola eddembe lya bakyala nga bali ku mirimu basobole okweyagalira mu bye bakola.
Olunaku bakyala olwomulundi guno lukuziddwa wansi womulamwa ogugamba nti “okuzimbira ku maanyi ga bakyala okuba ne biseera byomumaaso ebirungi wakati mu kusomozebwa kya COVID-19.”