Amawulire

Bannamawulire Aba’diventi bekozeemu omulimu

Bannamawulire Aba’diventi bekozeemu omulimu

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Bannamawulire abakubibwa ab’amaggye, mu kanyolagano akaali e Kololo, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi bweyali agenze okuloopa ekiwamba bawagizi be ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku dmbe lyobuntu, bebazizza Katonda olwokubayisa mu kufa okwali kubajidde.

Bano nga bakulembeddwamu Josephine Namakumbi, John Cliff Wamala nabalala betabye mu kusaba okwokusinza nokwebaza ku kanisa ya Mukono SDA Central Church, ngeno balombozze obukambwe obwabkolebwako nobulumi bwebayitamu.

Bategeezezza nti abakuuma ddembe babakuba ngebyoku ttale nga n’abamu ku bannaabwe tebasukanga.

Presidenti ekya SDA Media Association, ekigatta bananamuwlire abadiventi Joshua Musaasizzi Nsubuga naye avumiridde obukambwe bwabakuuma ddembe ku banamawulire.

Omusumba, Noah Ssekitto atwala disitulikiti ya Mukono, eye kanisa yaba-adventi alabudde nti egwanga lyolekedde akaseera akazibu, ssinga ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu bineyongera.