Amawulire

bannamateeka bubefuse

Ali Mivule

March 21st, 2014

No comments

Lukwgao taken away

Ssabawolereza wa government azeemu okukikatiriza nga Lukwago by’atakyali lord mayor ow’ekibuga Kampala.

Bwabadde awayo okwewozako kwe mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe ssabawolereza wa government agambye nti ebbaluwa okuva mu kooti eyimiriza okugoba Lukwago yaletebwa kikerezi.

Ngayitta mu Martin Mwambusha, ssabawolereza agambye nti n’ebbawula eno teyaliko Mukono gw’omuwandiisi wa kooti ate nga terina na seal.

Mu kusooka abanamateeka ba Lukwago ngabakulembeddwamu Abdu Katuntu,bategezeza kooti ng’omuntu wabwe bwagenda okukosebwa ebyensuso singa lord mayor wa Kampala kadibwamu.

Katuntu era yategezeza kooti nti ekifo kya Lord Mayor sikikalu oluvanyuma lwa kooti okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okujja obwesigwa mu Lukwago.