Amawulire

Bannamateeka b’omubaka Ssewanyana bagenda mu Kooti

Bannamateeka b’omubaka Ssewanyana bagenda mu Kooti

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Bannamateeka bomubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana bategezezzza nga bwetandise entekateeka okutwala okusaba kwabwe mu kooti eyise ekiragiro ekikaka gavumenti okuleeta omuntu waabwe mu koti nga mulamu obanga mufu.

Wiiki ewedde, omubaka Ssewanyanawaliwo abamuvumbagira nebamubuzaawo, mu mmotoka bweyali afuluma ekkomera lye Kigo kooti bweyali emuwadde okweyimirirwa.

Wabula amgye gavaayo oluvanyuma nebakakasa okukwatibwa kwa Ssewanyana.

Omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Flavia Byekwaso yategeeza nti baamukwata ku misango emirala gyalina okwanukula.

Omubaka omukyala owamasekati ga Kampala nga ye munnamateeka wa Ssewanyana, Shamim Malende agambye nti era bakyawakanya engeri gyeyakwatibwamu.

Ssewanyana ne munne owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya awamu bavunanibwa emisango gyabutujju nobutemu ngoludda oluwaabi lugamba nti buterevu betaba mu butemu bwebijambiya e Masaka.