Amawulire

Bannamateeka bogedde ku kiteeso kya Ababaka ba NRM

Bannamateeka bogedde ku kiteeso kya Ababaka ba NRM

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2023

No comments

Bya Esther Oluka,

Ebiteeso 24 ebyayisibwa ababaka ba palamenti abava mu kibiina kya NRM nga basinzira mu lusirika lwe babaddemu e Kyankwanzi bikyagenda mu maaso n’okutabula bannauganda.

Ebimu ku byebateesaako kwe kuggyawo obuwagizi bwabwe mu biseera eby’omu maaso eri etteeka lyonna singa lireetebwa omubaka wa palamenti ow’obwannannyini, basazeewo kuwagira mateeka ago gokka agaba galeetebwa gavumenti.

Kino abatunulira ebyobufuzi bakirabye nga ekigendererwa kya NRM okufutyanka ebyóbufuzi bya Uganda.

Kakensa mu kutaputa ssemateeka Peter Walubiri atubuulidde nti ekiteeso kya babaka bano okulemesa abatali ba NRM kuleeta mateeka mu palamenti kigenderera kwefuga kusalawo kunsonga enkulu ezeggwanga ate nga kikyamu.

Okusalawo kwababaka kugidde mu kiseera nga amabago agaleetebwa abantu ssekinomu mu palamenti geyondde ensangi zino nga neriktasembyeyo lye tteeka ku bisiyaga eryaleetebwa omubaka wa Bugiri Municipaali Asuman Basalirwa, era omukulembeze weggwanga naliyisa.