Amawulire

Bannamateeka bavumiridde okuggalira Kayihura

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekibiina ekitaba banamateeka mu gwanga ekya Uganda law society kivumiridde okuggalirwa kwomubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze neyali ssbapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura ngessaawa zisobye mu 48 nga tebatwaliddwa mu kooti.

President wekibiina Simon Peter Kinobe, agambye nti kuno kumenya amteeka kwennyini.

Nambooze ngali mu mbeera mbi, Kinobe agamba kikyamu obutawuliriza kusaba kwe okumuyimbula agende okujanjabibwa.

Nambooze yakwatibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nebamugalira ku poliisi ye Nagalama e Mukono gyebamujje okumutwala mu ddwaliro e Kiruddu ngembeera yobulamu bwe eyononese.

Ate Gen Kayihura yakwatibwa Lyantonde ku kyalo Kashagama nga kati aggaliddwa ku nkambi yamagye e Makindye.