Amawulire

Bannamateeka baddukidde mu Kkooti bawakanya etteeka kunkozesa ya Komputa

Bannamateeka baddukidde mu Kkooti bawakanya etteeka kunkozesa ya Komputa

Ivan Ssenabulya

December 19th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law society kidukidde mu kkooti ya Ssemateeka nga bawakanya etteeka empya kunkozeza ya komputa erya Computa misuse manangement Act, bagamba nti lityoboola eddembe lyobuntu.

Okusaba kw’ekibiina kino wekugidde nga waliwo ne bibiina byobwannakyewa ebirala ebyaddukira mu kkooti kunsonga yemu.

Mu kiwandiiko kye, pulezidenti w’ekibiina kya Law society, Bernard Oundo ayagala kkooti efulumye mangu ekiragiro eky’enkalakkalira ekigaana Ssaabawolereza wa Gavumenti n’abakungu ba gavumenti abalala bonna okussa mu nkola etteeka lino.

Bannamateeka bagamba nti obuwayiro mu tteeka lino tebitegeerekeka bulungi.

Kkooti ewadde Ssaabawolereza wa Gavumenti ennaku musanvu z’ayinza okussaayo eky’okuddamu kye.