Amawulire

Bannamateeka ba Sejusa bagaanye emisango

Bannamateeka ba Sejusa bagaanye emisango

Ali Mivule

February 2nd, 2016

No comments

Gen. David Sejjusa

Gen. David Sejjusa

Bannamateeka ba munnamagye gen David Sejusa bakubye ebituli mu misango egivunanibwa omuntu waabwe.

Ssentebe wa kkooti y’amagye Maj gen Levi Karuhanga, asomedde Sejjusa emisango gy’okwogera ebigambo ebitematema mu bantu nga akyaali munnamagye  wamu n’okwebulankanya okuva mu palamenti nga tafunye lukusa .

Emisango gino kigambibwa okuba nti yagizza emabegako nga 30th April 2013 Sejusa bweyali akyaali omukiise w’amagye mu palamenti.

Wabula bannamateeka ba Sejusa nga bakulembeddwamu David Mushabe bagamba kkooti eno terina buyinza kugenda mu maaso nakuwulira misango gino kubanga omuntu waabwe tasobola kuvunanaibwa mu kkooti y’amagye nga yasaba dda okugawummula nga era alina n’omusango mu kkooti enkulu.

Bano bagamba nti kkooti enkulu ekyalina okusalawo oba Sejjusa akyali mujaasi oba kati Muntu wabulijjo.