Amawulire

Bannakyewa bawabudde ababaka ba NRM mu lutalo lwókulwanyisa enguzi

Bannakyewa bawabudde ababaka ba NRM mu lutalo lwókulwanyisa enguzi

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina kyóbwannakyewa ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ki Anti-Corruption Coalition Uganda, kisoomoozezza ababaka ba palamenti abava mu kibiina kya NRM era nga bebasinga obungi mu palamenti okussaawo etteeka erinunula eby’obugagga ebiba bibbiddwa abanene mu gavumenti bwekiba nti ddala beetegefu okuyambako mu kulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga.

Ababaka mu lusirika lwe babaddemu e Kyankwanzi okumala ennaku 10, beeyamye okuyambako gavumenti mu kulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga

Ekiteeso kino kijjidde wakati mu kunoonyereza n’okuvunaana baminisita n’abakungu ba gavumenti ab’oku ntikko abawerako okugenda mu maaso ku mabaati ge babulankanya agalina okuweebwa abanaku mu bitundu bye Karamoja.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, akulira omukago gwa ACCU, Marlon Agaba agamba nti ekiteeso kino kya kugwa butaka singa ababaka tebabakaako kyebakola ekyesimba okutukiriza obweyamo bwabwe.

Okusinziira ku Agaba, etteeka ly’okununula eby’obugagga ebiba bibbiddwa abakungu ba gavumenti lyakusobozesa gavumenti okuwamba eby’obugagga, ebintu n’ensimbi z’abalyake.