Amawulire

Bannakyewa batiisatiisiza okugalawo yafeesi zaabwe

Bannakyewa batiisatiisiza okugalawo yafeesi zaabwe

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ebibiina byobwannakyewa ebiwerako bitisizatiisiza okuggalawo emirimu gyabyo mu ggwanga lino singa gavt tekomya ku bitulugunya.

Kino kidiridde mu ssabiiti ewedde poliisi okukwata CEO wa Africa Institute for Energy Governance (AFIEGO) Dickens Kamugisha nábakozi abalala 6 kunsonga ezitategerekeka.

Mu mwezi ogwomunana omwaka guno gavt okuyita mu kitongole kyayo ekirondoola emirimu gya bannakyewa ekya NGO Bureau bayimiriza emirimu gye bibiina byobwannakyewa 54 nga kya AFIEGO mwokitwalidde nga balangibwa kutagoberera mateeka.

Mu lukungana lwa bannamawulire olutuziddwa ku yafeesi zékibiina kya Center for Constitutional Governance mu kampala, akulira ekibiina kino Sarah Bireete, anyonyodde nti obulumbaganyi obukolebwa ku bannakyewa bugenderedde ku banafuya

Wabula aweze nti singa gavt terekeraawo ku batulugunya bakugalawo yafeesi zabwe batandike okukola mu butali bulambulukufu.