Amawulire

Bannakyewa basabye Gavt ku byémmere

Bannakyewa basabye Gavt ku byémmere

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Banakyewa abalwanilira ensonga z’emmere baagala Gavumenti effube okutuusa ku bannansi amawulire agakwata ku bibalo by’abantu abali obubi mu by’emmere kiyambeko buli omu okumanya wa wayinza okutandikira mu lutalo olw’okulaba ng’eggwanga libeera n’emmere emala.

Okusinziira ku Agnes Kirabo akulira ekitongole ki Food Rights Alliance, alipoota y’eggwanga ekwata ku mere yasemba okufuluma mu mawak gwa 2017 era nga yalaga nti bana Uganda abasoba mu bukadde 10 bebaali beyaguza olujjo.

Agamba nti ku ntandikwa y’omwaka guno oluvanyuma lw’emyaka 5, gavumenti lweyavuddeyo n’ebibalo ebyebiwagu nga okusinga bitunuulidde abantu abawangalira mu bitundu eby’ebibuga nga bilaga nti abantu abalala abasoba mu bukadde 2 nabo bebasiiba ate nebasula nga tebafunye kyakulya.