Amawulire

Bannakyewa basabye amaanyi góngerwemu mu kulwanyisa enguzi

Bannakyewa basabye amaanyi góngerwemu mu kulwanyisa enguzi

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Samuel Ssebuliba,

Bannakyewa abali mu bitongole ebirwanyisa enguzi basabye amawanga ga Africa okwongera amaanyi mu kulwanyisa enguzi kubanga etandise okulemaza ebyenfuna byamawanga agenjawulo.

Julius Mukunda akulira ekitongole ki Civil Society Budget Advocacy Group  abuulidde gavumenti yaakuno nti enguzi etuntumuka mu Africa evudde ku bakulembeze okukwata nobunafu, kale nga ebitongole ebigirwanyisa bigwana okwongerwa obuyina kko namateeka amakakali okuyisibwa.

Mukunda okwogera bino abadde ku mikolo gyokukuza olunaku lwokujjira okulwanyisa enguzu mu Africa olutegekeddwa kalisoliiso wa gavumenti.

Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ba gavumenti bangi, kko nebitongole ebirwanyisa enguzi okuva mu mawanga nga

Nigeria, Rwanda, Algeria, Angola, Congo n’amalala.