Amawulire

Bannakyewa basabye abatyoboola eddembe lya baana bagibweko layisinsi

Bannakyewa basabye abatyoboola eddembe lya baana bagibweko layisinsi

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bannakyewa bagala gavumenti esazeewo layisinsi ezabantu abenyigira mu bikolwa ebyokulinyirira eddembe ly’abaana mu ggwanga.

Okusinzira kwakulira ekibiina kya Compassion International mu Uganda, Lenny Mugisha, ekiyambako mu kuyamba abaana abatalina mwasirizi, kizibi nyo abantu abalina obuvunanyizibwa obw’okukuuma abaana bano ate okubalumya.

Ono agamba nti alipoota nnyingi ezize zifulumizibwa nga abaana bakabasanyizibwa n’okuweebwa ebibonerezo ebikakali abamasomero ne batakangavulwa.

Kati Mugisha asabye gavumenti okusazaamu layisinsi za bantu nga abasomesa abadda ku bayizi babwe ne babasobyako n’okubawa ebibonerezo ebikakali nga baziza emisango.

Okulwanyisa ebikolwa ebyokutulugunya abaana kye kimu kukirubirirwa gavt kyelwanako wetutukira omwaka gwa 2030 nga bilinyibwa kunfeete.