Amawulire

Bannakyewa bakubiriziddwa okuyambako mu nkola y’okukulakulanya emiruka

Bannakyewa bakubiriziddwa okuyambako mu nkola y’okukulakulanya emiruka

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Minisita wa Kampala, Minsa Kabanda asabye ebibiina by’obwannakyewa ebikolera mu Kampala n’ababikwatibwako ensonga okwettanira enkola ya Parish Development Model, okusobola okutuusa obuweereza obulungi eri abantu.

Minisita okwogera bino yabadde mu musomo gw’ebibiina by’obwannakyewa e Nakawa mu Kampala.

yasabye ebibiina by’obwannakyewa okufaayo ennyo n’okuwagira enteekateeka za gavumenti okusobola okutumbula empeereza yaabwe eri bannauganda.

Yayongedde okulaga obukulu bw’enteekateeka ya Parish Development Model, nakubiriza bannauganda okwewala okugiteekamu ebyobufuzi kuba egenderera kuyamba bantu bonna awatali kusososla.

Minisita era yasuubiziza ebibiina byobwannakyewa okufuna obuwagizi okuva eri gavumenti singa basigala ku mulamwa.