Amawulire

Bannakyewa bagala ssente okuva mu World Bank zikozesebwe okugula eddagala

Bannakyewa bagala ssente okuva mu World Bank zikozesebwe okugula eddagala

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ebitongole byobwanakyewa bisabye gavumenti okukozesa ensimbi obukadde bwa $ 346 nga bwebwesedde bwa silingi 1 nobuwmbi 200 okugula eddagala erigema ssenyiga omukambwe.

Banka yensi gyebuvuddeko yawa Ugansa ssente zino eri gavumenti ya Uganda okulwanyisa ssenyiga omukambwe nokuzza engulu ebyenfuna.

Ebitongole nakyewa okuli Oxfam International, Uganda Debt Network, SEATINI nebirala bagambye nti okuteeka ssente zino mu kugul eddagala erigema kyekijja okutereeza egwanga okuva mu muggalo ogutakoma.

Akulira ekitongole kya Southern and Eastern Africa Trade Information and Negotiations Institute (SEATINI) Jane Nalunga agambye nti ssente zino zisoboka n’okukozesebwa okuvujirira embalirira yegwanga.