Amawulire

Bannakyewa 7 bakwatibwa mu Kampala nga beekalakaasa lwa Mabaati

Bannakyewa 7 bakwatibwa mu Kampala nga beekalakaasa lwa Mabaati

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye

Poliisi mu Kampala ekutte bannakyewa musanvu okuva mu kibiina kya Torture Survivors Movement Uganda ababadde beekalakaasa nga bawakanya Poliisi okulemererwa okukwata abakungu ba gavumenti abo bonna abeenyigira mu nsonga zókwezibikka amabaati agalina okuweebwa abawejere e Karamoja.

Abaakwatiddwa babadde baagala Baminisita, Sipiika wa Palamenti, omumyuka wa Pulezidenti, n’ababaka ba NRM bonna bakwatibwe kubigambibwa nti bagabana amabaati agaali gagendereddwamu okutwalibwa mu kitundu kye Karamoja.

Abakwate bagibwa mu kibuga Kampala wakati, okumpi ne Miniprice.

Omwogezi wa Poliisi mu kampala ne miriraano Patrick Onyango, agamba nti abakwatiddwa bagenda kuvunaanibwa omusango gw’okutegeka okwekalakaasa okumenya amateeka nokugezaako okusasama abalala