Amawulire

Bannakyeewa bavuddeyo ku Mbabazi

Bannakyeewa bavuddeyo ku Mbabazi

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura


File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura

File Photo : Mbabazi ngali ne Kaihura

Oluvanyuma lwa poliisi okugaana eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu nga bweyasaba n’akakiiko k’ebyokulonda nako nekamugamba asooke kukwatagana na kibiina kye ekya NRM,  bannakyeewa  bakitadde ku mateeka manafu.

Olunaku lweggulo poliisi y’aweze obutakkiriza Mbabazi kugenda eri bantu kubanga ekibiina kya ekya NRM kyamweganye kale nga alina okutuula n’abekibiina kye bakkanye awatali ekyo teri kugenda eri bantu.

Kati akulira omukago gw’ebibiina byobwanakyewa Richard ssewakiryanga agamba amateeka mu kiseera kino gataputibwa okusinziira ku muntu ekikyaamu.

Agamba kino kisaanye okukyuuka amateeka gano galeme kwolekezebwa bantu ssekinoomu .

Mu ngeri yeemu,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu disitulikiti ya Arua balabudde poliisi okukomya okwetaba mu by’obufuzi ebrimu kyekubira.

 

Kino kiddiridde abawagizi ba pulezidenti Museveni okukkirizibwa okwekalakaasa mu mirembe nga bawakanya ekya Mbabazi okulangirira nti wkwesimba ku pulezidenti Museveni.

 

Kati ssentebe w’ekibiina kya FDC mu disitulikiti eno  Hamza Manzu agamba poliisi eraze kyekubira nga bannabyabufuzi abalondemu bakkirizibwa okwekalakaasa nga abvuganya gavumenti babatwala nenabugi ssimufundikire.

 

Wabula aduumira poliisi mu disitulikiti eno  Jonathan Musinguzi agamba abawagizi ba pulezidenti Museveni batuukirizza ebisanyizo byonna n’amateeka agalungamya ku by’enkungaana.

 

Poliisi gyebuvuddeko y’alangiridde nga bwebatajja kukkiriza Mbaabzi kwebuuza ku balonzi kubanga ekibiina kye ekya NRM kyakweganye.