Amawulire

Bannakyeewa bakaaye ku mukenenya

Ali Mivule

August 20th, 2014

No comments

testing

Abali mu lutalo ku mukenenya bakyawanda muliro ku kya pulezidenti Museveni okussa omukono ku tteeka erinayamba okuziyiza mukenenya.

Abantu bano bagamba nti etteeka lino ligenda kuzza eggwanga amabega mu lutalo ku mukenenya

Akulira ekigatta abalina obulwadde bwa mukenenya mu East Africa Lilian Mworeka yewunyizza engeri eggwanga gyerinamalawo obulwadde buno ng’etteeka bweriti weeriri

Twogeddeko n’abalwanisa mukenenya abawera mu lukungaana lwa bannamawulire lwebakubye kyokka nga bonna bakkiriziganyizza nti etteeka teryetaagisa

Bbo nno ab’akakiiko ka gavumenti akakola ku mukenenya bagamba nti pulezidenti talina musango kussa mukono ku tteeka lino ng’obuzibu bwonna buli ku bamuwa amagezi

Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agambye nti pulezidenti talina budde buyita mu tteeka ng’omulimu gwa bawabuzi

Naye nga ddala biki ebiri mu bbago lino, Omusasi waffe Diana Wanyana ayiseeko mu tteeka lino era k’atutuuseeko obumu ku buwayiiro obulilimu