Amawulire

Bannadiini bavudeyo kumuggalo ku masinzizo

Bannadiini bavudeyo kumuggalo ku masinzizo

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abakulembeze beddiini badukidde mu kkkooti ya East Africa etuula mu kibuga Arushua, nga Bagala gavt eggule amasinzizo

Bano nga bakulembedwamu ekanisa ya Reigning in Life Ministries, ekulemberwa munnamateeka Abubaker Hassan Matanda bagamba nti ekyomukulembeze weggwanga okuteeka amakanisa ku muggalo kirinyirira eddembe lyóbuntu.

Okuyita mu munnamateeka Daniel Walyemera abakkriza bagala bakkirizibwe okugenda okusinza wakati mu kugoberera ebiragiro ngebitongole ebirala ebyagulibwa.

Bukya kirwadde kya covid-19 kirumba eggwanga pulezidenti mukwogerakwe azze akaliga amasinzizo obutagula nga agamba nti gakunganya abantu bangi ekiyinza okuvako obulwadde okwongera okutaama.