Amawulire

bannaddiini bawanjaze ku tteeka ku bisiyaga

Ali Mivule

December 28th, 2013

No comments

Serwadda

Pulezidenti museveni asabiddwa okussa emikono ku bbago ly’etteeka erivumirira obuli bw’ebisiyaga.

Akulira abasumba b’abalokole, Omutume Dr. Joseph Serwadda agamba nti pulezidenti asaanye okukyusaamu wa w’ayimiridde ku nsonga z’ebbago lino.

Kino kiddiridde pulezidenti museveni okutegeeza ng’okuyisa etteeka lino bwekwayanguyirizibwa mu palamenti Omutume Serwadda agamba nti ebbago lino limaze mu alamenti emyaka 5 era ng’eky’obutetegereza tteeka lino tekisobola kufuuka kyekwaso.

Sserwadda abadde ayogerako eri bannamawulire ku kusaba okutegekeddwa e Namboole ku kiro ekikeesa omwaka ku kisaawe e Namboole.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *