Amawulire

Bannaddiini bavumiridde ettemu eriri mu bitundu byé Masaka

Bannaddiini bavumiridde ettemu eriri mu bitundu byé Masaka

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omulabirizi wóbusumba bwe ssaza ekkulu Kampala archdiocese Rt Rev Paul Ssemwogerere, asabye omukulembeze weggwanga Museveni okukomekereza obutemu bwe bijjambiya obuli mu bitundu byobwagagavu bwe masaka.

Obutemu obwatandika mu masekati gomwezi ogwomusanvu mwakafiiramu abantu 30 era okusinga bakadde bebattibwa.

Abakuuma dembe bakakwata abateberezebwa okwenyigira mu butemu buno abasoba mu 60 era 10 kubbo basimbibwa mu mbuga za mateeka okubitebya.

Omusumba Ssemwogerere avumiridde obutemu buno nasaba abobuyinza okukola okunonyereza okwamangu ababuli emabega bakwatibwa era bavunanibwe kisobole okuzaawo obutebenkevu mu kitundu kino.