Amawulire

Bannaddiini basabye Gavt aleete alipoota ku bantu abazze bawambibwa

Bannaddiini basabye Gavt aleete alipoota ku bantu abazze bawambibwa

Ivan Ssenabulya

December 19th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bannaddiiini wansi w’ekibiina kyabwe ekya ‘Inter-religious council of Uganda, basabye gavumenti okufulumya alipoota ekwata ku Bannayuganda ababuze.

Wabaddewo okwemulugunya mu lujjudde olw’abantu abagambibwa nti baawambibwa n’abamu bakwatibwa nga okulonda kwa bonna tekunnabaawo, n’oluvannyuma lw’okulonda abakyabuze n’okutuusa kati.

Bano kigambibwa nti okusinga bawagizi ba National Unity Platform.

Nga batuusa obubaka bwabwe obumalako omwaka eri Bannayuganda, bannaddiini balaze obutali bumativu olwa gavumenti obutakola kimala ababuuzibwawo okudda eri abenganda zabwe.

Ssentebe wa IRCU era nga ye ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr Steven Kazimba Mugalu, asabye gavumenti okuleeta alipoota ekwata ku Bannayuganda bonna abaabuzibwawo bannayuganda bamanyisibwa ku kaweefube wa gavt okulaba nti abantu bano bayimbulwa.