Amawulire

Bannaddiini basabiddwa okwengera amaanyi mu kawefube wókulwanyisa Siriimu

Bannaddiini basabiddwa okwengera amaanyi mu kawefube wókulwanyisa Siriimu

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga aka Uganda Aids Commission, kasabye bannaddiini okwongera amanyi mu kawefube owokulaba nti Uganda ekomya okusaasaana kwa kawuka siriimu.

Bino byogeddwa Enid Wamani eyakiikiridde Dayirekita omukulu ow’akakiiko kano ku mukolo gw’okutongoza enteekateeka bannaddiini gyebaneeyambisa okukwatizaako gavt okulwanyisa akawuka.

Wamani agambye nti akawuka ka siriimu kakyali ka bulabe bwamaanyi kale nga bannaddiini balina okukozesa emikutu gyabwe egy’enjawulo okumanyisa abagoberezi baabwe ku kwetangira n’okujjanjaba bwekirwadde kino.