Amawulire

Bannabyanjigiriza bazeemu okubanja okuggulawo amasomero

Bannabyanjigiriza bazeemu okubanja okuggulawo amasomero

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abakugu mubyenjigiriza basabye gavumenti eddemu okulowooza ku kyokuggulawo amasomero, obutakyesigamya ku kugema.

Wiiki eno olukiiko olwa waggulu olulwanyisa ssenyiga omukambwe, lwatudde nebasalawo nti amasomero gagulwewo mu mpalo.

Mwulire agomunda agasomoddwa galaga nti basazeewo, University namatendsekero gebyemikono gagulewo mu Novemba womwaka guno ate abasigadde bagulewo mu January womwaka ogujja ngabasomesa, abakozi nabayizi bamaze okugemebwa ssenyiga omukambwe.

Kati akulira ekitongole kya Uwezo Uganda nga ye Dr Mary Gorreti Nakabugo awabudde nti amasomero gagulwewo mungeri eyamangu nga tekyesigamiziddwa ku kugema.

Ate Ssabawandiisi wekibiina ekigatta amasomero agobwananyinni, Federation of Non- State Education Institutions nga ye Patrick Kaboyo asabye gavumenti ekozese ku ssente zeyajja mu kitavvu kya IMF ookuyita mu palamenti ziweebwe minisitule yebyenjigiriz ngenyongereza mu ntekateka yokuggulawo amsomero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *