Amawulire

BannaBuddu beesunze okulaba ku Mutanda

BannaBuddu beesunze okulaba ku Mutanda

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Prossy Kisakye

Ng’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 28 gasembedde, banna Nkoni bali mu kwejaga okulaba nga baaniriza Omutanda mu kitiibwa mu kitundu kyabwe.

Waliwo betusanze ku miryango ejiyingira mu lubiri lw’omutanda e Nkoni awagenda okubeera amatikkira gano nga bakola butaweera okuzimba ebiyitirirwa Omutanda wanaayita.

Abatuuze be Nkoni batubuulidde essanyu lye balina okulaba nga bagenda kukyaza omutanda kyokka abamu nebennyamira nti bagenda kusubwa okumulabako newankubadde azze mu kitundu kyabwe.

Ssentebe w’egombolola ye kkingo mu district ye Lwengo Aloysius Kibira agamba nti bamaze okweteekateeka okwaniriza Ssaabasajja nga bamaze okukola bulungi bwansi okulaba nga baaniriza Magulu Nnyondo mu kitiibwa.

Mungeri yemu ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kyozayozeza Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11 ol’wokutuuka ku matikirage agómulundi ogwa 28th.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, ssabawandiisi wa kanso ekola ku bannakibiina abali emitala wa mayanja era nga ye mubaka wa palamenti akikirira abé Bukoto central, Eng Richard Sebamala, agambye nti ekibiina kya DP kyetegefu olulwanirira ebirubirirwa bya Buganda ne nnono

Wabula alaze obwenyamivu olwa gavt okwagala okwefunza ettaka lya ssabasajja