Amawulire

Bannayuganda batya okwogera ku bakulembeze

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Bann-Uganda bakyalinamu enkenyera bwekituuka ku kunenya ku bakulembeze baabwe ku mutendera ogwa waggulu, songa bwekituuka ku bakulembeze aba wansi bakolokota awataliimu kutya kwonna.

Bwabadde afulumya alipoota gyebatuumye Frankly speaking oluvanyuma lwokunonyereza okwakoleddwa aba Twaweza Uganda, ebibalo biraze nti 85% bann-Uganda bakiriza nti batekeddwa okunenya abakulembeze baabwe ate 44% bebakakafu ero obukuumi gyebali nga baogedde ku bakulembeze.

Omunonyereza omukulu Marie Nanyanzi agambye nti abasing babaeera bogera ku bibaluma mu buwereza bwa gavumenti  gyebali.

Kati ono agambye nti buvunayizibwa bwa gavumenti okumalalwo okutya okuli mu bantu.

wabula Muserero Joseph, omukwanaganya webimeeza biyite Balaza mu wofiisi ya ssabaminista agambye nti abatuuze bababwa ebbeetu okweyogerera.

Okunonyereza kuno kwakolebwa mu November wa 2017 nga batukirirra abantu 2,000/- okwetoola egwanga.