Amawulire

Bann-diini temukoowa kuwabula banabyabufuzi

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Siriman Kasule Ndirangwa   akubiriza  banaddini  obutagwamu manyi mu kuwabula  bannabyabufuzi abalabika nga bava ku mulamwa.

Sheik Ndiragwa agamba nti mulimu gwa banaddini okuwabula abantu naddala ku nsonga zebyobufuzi kubanga Uganda ekwatta ku bantu bonna, kavuna ebiba bisaribwawo biba nga byakukoosa abantu bonna.

Shekh Ndirangwa era akubirizza abasiraamu  okubera  abamazima nga batukiriza obweyamu  bwabwe  mu kukulembera  bannabwe.