Amawulire

Bankuba kyeyo bagala bayambibwe Gavumenti

Bankuba kyeyo bagala bayambibwe Gavumenti

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Bannauganda abakolera emitala wa Mayanja baagala wabeewo enkola ennungamu ebawa obukuumi mu mawanga gyebagenda.

Okusinziira ku kibiina ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku nsonga za baknkuba kyeyo ki International Organization for Migration (IOM), okutambula kw’abakozi, singa kuddukanyizibwa bulungi, kivaako enkulaakulana eri amawanga agakyakula.

Wabula bannauganda bankuba kyeyo bazze beemulugunya kumbeera embi mwebakolera emirimu gyabwe nga nabamu bafiira ku mawanga.

Akulira ekibiina omwegatira bankuba kyeyo wano mu ggwanga ki Migrant Workers Voice, Abdullah Kayondo asabye gavumenti okukwatagana ne zi gavt za mawanga gyebagenda basobole okufuna omusaala ogwegasa nobutatulugunyizibwa.

Ono okugeza ayagala emisaala gy’abakozi bano girinnye okutuuka ku shs 1.5m.

Kayondo alaga nti nga bwe batayagala kuggalwa kwa labour externalization, beetaaga yinsuwa cover okubakuuma n’ensawo ya welfare.