Amawulire

Banka yénsi yonna esazizaamu obuyambi eri KCCA
Bya Prossy Kisakye,
Banka yensi yonna siyakuza bugya endagano mwebabadde bavugirira ekitongole kya KCCA omusimbi okukola ku pulojekiti yokukulakulanya ekibuga eya Kampala Institutional and Infrastructure Development Projects (KIIDPII) singa engdagano egwako mu June 30th 2021.
Mu pulojekiti eno ekitongole kya KCCA kisobodde okukola nokudabiriza enguudo zomu kampala, okuzimba emyala okuzimba enkulungo, okuteeka amatala kunguudo ne birala
Martin Onyach, akola ku byenkulakulana ye bibuga mu banka yensi yonna ategezeeza yafeesi ya loodi meeya wa Kampala nti si bakuza bugya ndagano ya pulojekiti eno kuba basangamu obuzibu omuli ne kitongole okuva kubimu byebakanyako
Wabula Hbanka yensi yonna erina entekateeka eyokugaziya pulojekiti eno okuzingiramu disitulikiti endala e satu ezirilanye kampala
Loodi meeya Erias Lukwago atendereza banka eno olwomulimu gwe bakoze mu kukulakulanya kampala wabula nalabula ku buzibu obwolekedde singa pulojekiti eno etalaga disitulikiti endala.