Amawulire

Banasayansi bazeemu okubanja ebbago lya Genetic Engineering regulatory bill

Banasayansi bazeemu okubanja ebbago lya Genetic Engineering regulatory bill

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ekibinja kyabanansayansi abato, okuva ku ttendekero lye Makerere basbye palamenti eyomulundi ogwe 11, okuyisa ebbago erya genetic engineering regulatory bill lifuuke etteeka.

Bano okuyita mu kibiina ekibagatta, Synbio-Africa baakulembeddwamu Geoffrey Otim nebalaga obukulu bwetteeka lino eri emirimu gyokunonyereza nokuvumbula mu gwanga.

Otim, agambye nti obutaberawo bwateeka lino, kigenda kwongera okugotaanya emirimu gyokunonyereza.

Wabula, ebbago lino lyali lyayisbwa palamenti, wabula omukulembeze wegwanga yagaana okulitekako omukono nalikomyawo eri palamenti babeeko byebatereeza.

Bano bagenda kutuuza olukungaana ku mutendera gwensi yonna, okuva nga 14 Okitobba mu Kampala, era baakuteesa ku kusomozebwa okwenjawuli okuli mu byokunonyereza nokuvumbula mu Africa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *