Amawulire

Banamawulire ku palamenti babagaanye okutuuza ababaka

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2018

No comments

Bya Nelson Wesonga

Palamenti eyimirizza banamwulire abasakirayo obutaddamu kutuuza nkungaana zaabwe nababaka munsda mu kizimbe.

Kitegezeddwa nti buvunanyizibwa bwekitongole kyebyamawulire ekya palamenti okutuuza banamwulire, okwogera ku nsonga ezenjawulo.

Moses Bwalatum omwogezi wa palamenti ategezeza nti bakimanyi bulungi nti waliwo ababaka abatukirira banamawulire “nga basaba press conference naye, bakubirizibwa okukwatagana nekitongole kya palamenti ekyamawulire.

Ono alabudde nti kino kinaaba kimabwe eri abanamaye ebiragairo, nga banamwulire abamu bakutekewabo envumbo.

Wabula aba Daily Monitor bwebatukiridde President owekibiina ekitabab abanwulire mu palamenti ekya Uganda Parliamentary Press Association, Isaac Imaka kino kiraga ebikolwa byokutisatiisanga banamwulire ebigenda mu maaso mu gwanga

Ono agambye nti kino kiyinza obutayamba kubanga nababaka abali mu 400 abamu tebamanyi ngeri yakukolaganamu ne banamwulire.