Amawulire

Banamawulire bavumiridde okukwatibwa kwa bannaabwe

Banamawulire bavumiridde okukwatibwa kwa bannaabwe

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekibiina ekitaba banamwulire ekya Uganda Journalist Association, kivumiridde okukwatibwa kwabanamwulire ababadde banonyererza ku vvulugu ali mu ministry yebyobulamu.

Banamwulire bomukutu gwa BBC Godfrey Badebye, Rashid Kaweesi ne Shafic Kasiima bakwatiddwa nomudereva waabwe Kasim Muhammad, nomwogezi wa ministry yebyobulamu Nakaliika Sserwanja mukyala wa Solomon Sserwanja, naye munamawulire.

Abataano bano bakwatiddwa ku byekuusa ku, kunonyereza kwebabaddeko ku nguzi nekibba ddagala lya gavumenti ekyetobese mu ministary yebyobulamu, nekitngole kye ddagala ekya National Drug Authority.

Kati okusinsiira ku kuwandiiko, akulira ebyamwulire mu UJA Ronald Kabuye, kyafulumizza kino bakiyise kutisatiisa banamwulire.

Kati btadde gavumenti ku nninga eyimbule banwmulire bano, mu bwangu, oba babatwale mu kooti mu budde obulambikiddwa mu mateeka.

Kati balabudde nti embeera eno, egenda kusatuula enkolagana wakati wabamawulire nebitongole bya gavumenti.