Amawulire

Banamateeka bo’mubaka Kyagulanyi baganeda kujulira

Banamateeka bo’mubaka Kyagulanyi baganeda kujulira

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Banamateeka bomubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu, bategezezza nti bagenda kuddukira mu kooti ejjukirwamu nga nga basaba nti omuntu waabwe ayimbulwe mangu ddala.

Omu ku banamateeka bomubaka ono Asuman Basalirwa atubuliidde nti embeera yomubaka mbi nnyo, nga betaaga atwalibwe wayinza okujanjabibwa mu bwangu.

Agambye nti ono bwatajanjabibwe mu bwangu kyandivaako akabi ku bulamu bwe.

Olunnaku olwe ggulo Basalirwa ne Medard Ssegona nga bebetabye mu lutuula lwa kooti yamagye olwekyama, bategeezza nti omuntu waabwe ali bubi.

Ate abatuuze mu munispaali ye Arua batanudde okulumiriza omuvubuka womu Kampala Brian Kirumira, amanayiddwa nga Brain White okubagulirira, okulonda munna NRM Nusura Tiperu mu kulonda kwomubaka wekitundu okwakomekerezeddwa.

Abatuuze abagambye nti Brian White, yagumba mu Arua, ngebula wiiki 2 neyefuula ali mu poloketi zokuyamba abavubuka nabkyala.

Abeeno bagamba nt ono yali wamu ne Zari Hassan, nga ababsubiza ebisawo ebisawo bya sente  ssinga balonda owa NRM.