Amawulire

Banakyeewa banakuwalidde ebigambo bya pulezidenti.

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Ebibiina ebirwanirira edembe ly’obuntu binakuwalidde omukulembeze we gwanga olw’okuvaayo nategeeza nga kooti ne police bwebitagwana kuddamu kukiriza muntu kuweebwa kakalu, nga agamba nti kino kyekivirideko obumenyi bwamateeka okweyongera.

Olunaku lw’eggulo omukulembeze we gwanga yakaladde nagamba nti abantu gamba nga abateberezebwa okutta abantu  tebagwana kuloza ku kakalu ka kooti oba police.

Twogedeko ne executive director wa  Foundation for Human rights Initiative Dr Livingstone Ssewanyana nagamba nti ebigambo bya president binakuwaza, ate bisambirira edembe  ly’obuntu.