Amawulire
Banadiini bavumiridde ettemu n’ekiwamba abantu
Bya Ritah Kemigisa
Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga azeeemu okuvumirirra ekiwamba, nekitta bantu, ebigenda mu maaso mu gwanga.
Bwabadde awa obubaka bwe mu kusaba aokufundikidde ekubo lyomusalaba, okwategekeddwa ekibiina ekigatta enzikiriza ekya Uganda Joint Christian Council, Ssabasumba agambye nti ekikolwa kino ssi kyabwakatonda.
Ayogedde ku kiwamba abantu nokubabuzaawo, nga kikolebwa abakuuma ddembe ate nayogera neku ttemu eryabadde e Nakulabye ku bakazi 5.
Mu birala bwebutemu obwakoleddwa ku mwana omuwere owemyezi 3, mu kitundu kya Acholi.
Kati Ssabasumba era ekuze banadiini okwongeramu amaanyi, okubunyisa ekigambo kya Katonda mu bantu.
Mu birala, wabaddewo okujjukira abantu bonna abafudde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Wano era asabye gavumenti okuttukiza kawefube wokubuliira abantu ku kirwadde kino, nentekaeeka zokugema ezigenda mu maaso, okujjawo obulimba obugenda busasaana mu bantu.
Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Kazimba Mugalu, yakulembeddemu abakiriza, nga basimbudde ku maka gobulabirizi e Namirembe nebamalira ku lutikko e Namirembe.