Amawulire

Banabyabufuzi abeewogoma okuwa omusolo bacoomeddwa

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel

Banabyabufuzi mu uganda basabiddwa okukoma okwebuzabuza ku byokuwa omusolo, kyoka nebagulekera abaavu okugwetikka.

Bwabadde eyogerera ku mukolo ogw’okufulumya alipoota ekwata ku byenfuna bye gwanga nga eno yakoleddwa banka y’ensi yonna, omuwandiisi we nkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi agambye banabyabufuzi bangi bwekituuka ku musolo  bayisa amateeka agabataatira, kyoka nga bafuna omusaala kisaagande ogwetaaga obutaleka kugenda bugenzi.

Kati ono asabye buli alina okuwa omusolo aguwe awatali kwebikirira, olwo nebanansi lwebagenda okukimanya nti fenna kitukwatako okuwa omusolo.