Amawulire

Bana kubawagizi ba NUP 32 abali mu Komera bayimbuddwa

Bana kubawagizi ba NUP 32 abali mu Komera bayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti y’ekinnamagye etuula eMakindye eyimbudde banna kibiina Kya NUP 4 kwabo 32 abavunanibwa ogwokusangibwa nebissi saako nebyambalo byekijaasi ngaate sibasirikale.

Abayimbudwa bakwatibwa mumwezi gwa May wa 2021 ng’eggwanga lyakava mukulonda kw’abonna okwalimu vvawo mpitewo.

Abayimbudwa kuliiko Richard Nyombi Shafiq Ngobi, Kenneth Kamya ne Ronald Mayinja.

Akulira Kkooti Eno Brigadier Freeman Mugabe ategezeza kkooti nti aba 4 abayimbudwa, balese ababeyimiridde abatuufu nga balina byona ebyabasabidwa kyokka ate 28 abasigadeyo babadde tebalina babeyimilira.

Abayimbudwa basabidwa okusasula emitwalo 500,000 egyobuliwo bulyomu nga zinno zakakkalu ka kkooti ate ababeeyimiridde basabiddwa obukadde 2 era nga bateredwako obukwakulizo obwobutava Mukampala okutusa ng’okunonyereza kuwedde.

28 abatabadde nababeyimirira batuufu badizidwayo kummere e Luzira nga bakukomezebwawo olunaku lwenkya bwebanaaba bafunye ababeyimira nga balina byonna ebyetagibwa kkooti,olwo esalewo ekiddako.