Amawulire

Bamusobezzaako kirindi n’afa

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

Enanga

Poliisi eri ku muyiggo gw’abasajja kkumi abakkidde omukyala nebamusobyaako ekirindi okutuuka lw’afudde.

Abasajja bano omukyala ono baamuwambye ne mukulu we ategerekese nga Jessica Ganyana nebabatwaala mu ssabo olwo nebabakolako ebivve.

Bino bibadde ku lusozi lwe Kabulengwa e Nansana mu disitulikiti ye Wakiso.

Abawala bano ng’omugenzi abadde muyimbi baabadde bagenze kutendeka mu kuyimba

Ganyana agamba nti yye bamukubye mbooko era olw’amaze nebabasuula ku kkubo era muganda we yafudde bakamutuusa e Mulago