Amawulire

Bamusanze asobya ku mbuzi

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Sadati Mbogo

Waliwo omuvubuka ku kyalo Lwajja mu ggombolola y’e Kituntu e Mpigi akubiddwa emiggo ejibuzeeko okumutta oluvanyuma lw’okumusanga ng’a yeberse ku mbuzi y’omu ku batuuze.

Akubiddwa ye Ssebuliba George owemyaka 27 ng’ono akwatiddwa lubona ng’ali ku nakabege ya mzee Abdu Lumu mu lusuku lwe nga balirwana ne nannyini mbuzi.

Ono okukwatibwa, wabaddewo obwana obuwulidde embuzi ngekaaba, okugenda okulingiza nga Ssebuliba ajimalirako ejjakirizi.

Amangu ddala buyise taata waabwo azze n’abantu abalala abamukubye emizibu nga kati addusiddwa aboolugandalwe mu ddwaliro lya Kituntu Health Center okuweebwa obujjanjabi.

Abatuuze bennyamidde olw’ekivve kino nebeewunya omuntu ategeera alina n’omukazi n’omwana ate okudda ku nsolo.