Amawulire

Bamukutte lwakutta muwala we

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Police e Jinja eriko omusajja owemyaka 36 gwekutte ku bigambibwa nti yatemudde muwala we.

Omukwate poliisi emumenye nga Mawazi Bogere omutuuze ku kyalo Buwekula mu ggombolola ye Mafubira nga kigambibwa nti yakidde muwala we owemyaka 14 namukuba okutuusa okumutta, ngamulanga okutetera nobulenzi.

Omukwate wabula kigambibwa nti omusango yaguzza omwaka gumu emabega, wabula yalabiseeko, abasubuzi mu katale e

Bugembe nebabaguliza ku poliisi.

Akulira poliisi ye Jinja Aggrey Asiimwe akakasizza okukwatibwa kwomusajja ono.