Amawulire

Bamugereirwe afulumizza olukalala lwababbi be ttaka

Ivan Ssenabulya

December 19th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssentebbe owakakiiko akaweebwa omulimu okunonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga, omulamuzi Catherine Bamugemeire aliko olukalala lwavuddeyo nalwo olwababbi era abanyakuzi be ttaka mu gwanga.

Muno mubaddemu ba nagagga, nabbi Samuel Kakande, Sudhir Rupalaria, Godfrey Kirumira, Humphrey Nzei nabalala njolo.

Bamugemeire wabula alabudde ababbi be ttaka obutakozesa ekiseera kye nnaku enkulu, okulowooza akakiiko kawumuzza emirimu gyako.

Asabye nabantu babulijjo okugenda mu maaso okuleeta ensonga zaabwe mu kakiiko.

Agambye nti bakugenda mu maaso nokunonyererza kwabwe okutukira ddala nga 8th January wa 2018.