Amawulire

Bamalaaya bakaayidde munaabwe

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Bamalaaya balumyeeko munaabwe emimwa lwa kusiiga basajja siriimu.

Eunice Atuhairwe mutuuze we Nateete wabula nga egigye agikolera ku mabiito agamba banne baamugwiridde mu nyumba yaabwe mwebasula nebatandiika okumukuba nga bamulanga okukkiriza okwebaka n’abasajja nga talina kapiira kyokka nga akimanyi bulungi nti mulwadde.

Ono gwetasanze ku ddwaliro e Mulago ategeezezza nga ddala bwekiri ekituufu nti mulwadde kyokka abaami bw’abagamba tebakirizza ate nga naye anoonya mmeere ya leero.

Atuhairwe agamba yabadde yerwanako munne gwebayitta Sandra n’amuluma emimwa n’agikutulako.

Kati ali m udwaliro Mulago ng’alindiridde kumutunga.