Amawulire

Bakulonda akakiiko k’ebyenguudo

Bakulonda akakiiko k’ebyenguudo

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye. Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ng’ali wamu ne ba Sentebe ba zi division mu Kampala nga begatiddwako ababaka ba Parliament okuva mu Kampala olunaku lw’enkya bakwenyigira mu kulonda kwa Sentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku makubo.

Akakiiko kano kekavunanyizibwa okulondoola ensimbi zonna eziteekebwa mu kukola enguudo n’emyaala ku lwa district ya Kampala.

Akakiiko  akogerwako, katondebwawo etteeka ly’ekittavvu ky’enguudo elya Uganda Road Fund elya 2008 era nga buli district kigikakatako okubeera n’akakiiko kano.

Katuulako ba sentebe za zi division zonna 5, ababaka ba Parliament abava mu Kampala, akulira entambuza y’emilimu mu kibuga, akulira eby’ekikugu era nga y’akola ng’omuwandiisi w’akakiiko gattako ne ba engineer ba zi division. Etteeka lyelimu era libawa obuyinza okwelondamu sentebe.

Kati Lord Mayor Lukwago agamba nti akakiiko kano kekagenda okusalawo nguudo ki eziba ziwebwa enkizo mu kuzimba n’okudaabirizibwa nga bakozesa obuwumbi 6 obwabawereddwa Omukulembeze w’eggwanga okuva mu Ministry ey’ebyensimbi nga zigenda kuziba binnya mu nguudo.

Wabula Lukwago alabudde ng’ensimbi zino bwezitagenda kukozesebwa kusasula mabanja wabula zigenda kulwanyisa ku kizibu ky‘ebinnya mu kibuga.