Amawulire

Bakontulakita ku ddwaliro lya Mpogo balabuddwa

Bakontulakita ku ddwaliro lya Mpogo balabuddwa

Ivan Ssenabulya

December 16th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Amyuka Omubaka wa pulezidenti atuula mu disitulikiti y’e Mityana John Bosco Lubyaayi Sseguya, alabudde kontulakita abaaweeredwa omulimu gwokuzimba eddwaliro lya Mpongo health center III okufuba okulaba nga tebaleeta buvuyo mu kitundu ekintu ekiyinza okuvirako okuyimiriza sente ezavudde mu banka yensi yonna okuzimba eddwaliro linno.

RDC Lubyaayi okwogera binno abadde nabakulembeze mu district ye Mityana nga batema evunike ku ddwaliro lya Mpongo Health center n’agamba nti banka y’ensi yonna bwekuwa sente ebeera teyagala kuwulira nti waliwo abantu abalwanaganye ng’okulwana kuva kumulimu gwebatademu sente nasaba abakulembeze okubeera abegendereza obutabanguko buleme kuberawo.

Ssentebe wa district ye Mityana Patrick Mugisha Nshiimye asabye abakulembeze bokubyaalo okubeera bakalabalaba ngomulimu gunno gukolebwa era nasaba contractor aba Almond Construction Company, okuwa abaana bokubyaalo emirimu.

Amyuka Engineer wa district ye Mityana Brian Mwanje agambye nti kuddwaliro linno bagenda kuzimba ekifo abakyaala webazalira,amayumba gabasawo,kabuyonjo ezomulembe wamu nokutekawo ekifo webasuula ebikozesebwa mu ddwaliro.

Omulimo gwokuzimba eddwaliro lino gwakuwementa obukadde bwensimbi obusoba mu 9000