Amawulire

Bakayungirizi b’emmotoka abasinga babbi-Poliisi

Ali Mivule

July 24th, 2014

No comments

Car bond new

Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi alagidde abaddukanya ebibanda ebitunda emotoka mu kampala okukomya omuze gw’okukozesa bakayungiruzi , b’agamba nti badda kubaguzi nebabanyagako ensimbi zaabwe.

Kaweesi agamba nti emisango nkumu gyetuumye mu poliisi ez’enjawulo, ng’abaguzi bawawaabira  bakayungirizi ababaguza emotoka , kyokka bwebamala nebadduka n’ensimbi , okukakkana nga bananyini bibanda bawambye motoka zino

Kaweesi alagidde abaduumizi ba poliisi bonna mu kibuga kampala , okukwata bakanyama bonna abeefudde banaggwano mu kuwamba emotoka z’abantu, songa nebanyini bibanda singa tebava  muze guno bakukwatibwa.