Amawulire

Bakansala ku munisipaali y’eMukono batabukidde tawuni kilaka ne meeya

Bakansala ku munisipaali y’eMukono batabukidde tawuni kilaka ne meeya

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abamu kuba kansla abatuula ku lukiiko lwa munisipaali ye Mukono bambalidde tawuni kilaaka Godfrey Kisekka ne meeya Erisa Mukasa Nkoyoyo, olwokukolanga emirimu gadibe ngalye.

Bagamba nti bano bekobaana okuwa kampuni 3 omulimu gwokukungaanya kasasairo nokulongoosa ekibuga okuli; De Waste, Bin IT Ug limited ne Namakya Enterprises limited awataali kugoberera mitendera.

Mike Ssegawa, kansala wa Ngandu-Kigombya asomozza nebisale ebya buli mwezi, emitwalo 3 ku buli muntu okuli abatuuze nabasubuzi.

Ono agamba nti ne kampuni zino zajibwa wabweru wa Mukono, okuweebwa omulimu guno awataali kuwa mukisa kampuni ez’omukitundu.

Ekirala, bawakanya ekyokubawa omukisa aokusasauza abantu okumala ebbanga, nga tebasasaula eri kanso.

Wabula meeya Erisa Mukasa Nkoyoyo bino byonna abiwakanyizza, nagamba nti kampuni ezava wabweru wa Mukono zaasunsulwa neziraga obusobozi okukola omulimu.

Asabye ba kansala obutayimiriza kampuni zino, kubanga gyandibavirako okubatanza mu mateeka, ensimbi butitimbe.

Ba kansala bagamba nti byonna ebikolebwa abakulu ku munisipaali ye Mukono, bikolebwa mabega wa lukiiko.