Amawulire

Bakaleke bamuyise mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuddumizi wa poliisi mu Kampala South, Hajji  Bakaleke Siraje ayitiddwa mu kooti enkulu ewuliriza egye ttaka okwanukula ku isango egyamuguddwako omusubuzi Kagga Moses Bbira nga byekuusa ku nkayana ku ttaka erisangibwa e Nsangi eribalirirwamu obukadde bwa Uganda 51.

Okusinziira ku biwandiiko ebimuyita ziyite sammons, Bakaleke alina ennaku 15 okwanula ngatekayo okwewozaako kwe.

Kagga alumiriza Bakaleke nekitongole kya poliisi okwekobaana nokuyamba Namutebi Safina  okubba ettaka lye.

Agamba nti Bakaleke yaddumira okukwatibwa kwe nebamuggalira, nalangirirra nokulangiria nti ettaka erikanyanirwa lya Namutebi bweyafuula omulamuzi.

Kagga era agamba nti okuva nga 3 February lwebamuggalira Namutebi neyezza ettaka, natandika nokutisatiisa abasenze nti nannyini ttaka omugya.

Kagga ategezeza nti ettaka lino lilye era yaligula ku Serunjogi Faizal.

Ayagala kooti ekirangirire nti ebikolwa bya Bakaleke bimenya mateeka.

Omusubuzi ono awawabidde Bakaleke, Namutebi ne ssabawolereza wa gavumenti.