Amawulire

Bahati akubaganye empawa ne Muhakanizi

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Minister omubeezi owebyensimbi David Bahati akaontanye nomuwandiisi owenkalalira ku byokuwooza ebitabo ebitukuvu

Omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry yebyensimbi Keith Muhakanizi, olwaleero ategeezeza nti kino baamaze okukirowoozako, era tebayinza kwejjusa.

Bwabadde ayogerera mu kutongoza alipoota ekwata ku by’enfuna bye gwanga eyakoleddwa bank yensi yonna, omuwandiisi  owenkalakalira mu ministry eno Keith Muhakanizi agambye nti talaba mutawaana ku kyakuteeka musolo ku bitabo bino.

Ono agambye nti Uganda bweba yakkukulakulana, buli muntu agwana awe omusolo awatali kwebuzabuza.

Wabula ate bwabadde aggalawo Minister Bahati bino abijunguludde bwatagezeza nti tewali makulu mu musolo guno era tegulina kyegugattako kyamanyi.

Bino webigidde nga banadiini bali mu kukolokota gavumenti olw’omusolo guno.